Omusajja ow’emyaka abiri mu etaano abikiddwa amayinja n’afiirawo
Enjega eno egudde ku kyaalo Butale ekisangibwa e Masaka .
Ssentebe w’ekyalo kino Herman Jagwe omugenzi amumenye nga Swaibu Ssentamu.
Ono agamba nti ayitiddwa abalombe abalala abalabye amayinja nga gakulukuta
Jjagwe agambye nti ekirombe kino kirabika bakisimye nnyo nga kitandise okunafuwa
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Serunjogi akakasizza amawulire gano n’ategeeza nga bwebabadde tebasobola kutaasa mugenzi kubanga tebabadde na bimotoka bisima
Ono wabula alabudde abalombe ku kusima ennyo wansi nti kino kinafuwa ettaka ekissa obulamu bwaabwe mu matigga.