Ebyobusuubuzi
Bannayuganda tebawa misolo
Abantu abeepena emisolo bakyaali bangi ddala
Kino kisinze kukosa nsawo za gavumenti ez’ebitundu.
Akulira ekibiina ekigatta bannekolera gyange,Gideon Badagawa ayagala gavumenti yekebejje bulungi okumanya bannaugana bameka abeepena emisolo.
Badagawa agamba nti abantu batono abwa emisolo gyebiggwera nga beebamenye bokka ate nga bangi abakozesa ebiva mu misolo gino.
Ono agamba nti mulimu gw agavumenti okulaba nti buli Muntu awa emisolo gye
Ono abadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza bannekolera gyange bannakyeewa.