Omusajja ow’emyaka 31 asibiddwa emyaka 2 lwakusangibwa na njaga
Dauda Lutwama amukalize ye mulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya City hall Elias Kakooza oluvanyuma lw’obujulizi okulaga nti ddala ono yali atambuza enjaga
Omulamuzi era yesigamye ku bujulizi obutwaliddwaawo mukyala wa Lutwama n’abaana nga bagamba nti buli lw’abadde aginywa ng’abakuba
Wabula omulamuzi asabye obukuumi eri mukyala wa Lutwama n’abaana kubanga bayinza okulumbibwa
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwaamu Joy Tushabe lugamba nti Lutwama omwookyi wa Welding yasangibw an’enjaga