Ebyobulamu
Abasumattuka kokoolo bagenze mu palamenti
Waliwo ekibinja ky’abantu abaalwalako kokoolo abaddukidde mu palamenti nga basaba nti gavumenti etereeze eddwaliro erikola ku balwadde ba kokoolo.
Nga bayita mu kibiina kya Uganda women’s cancer Organisation, bano bagambye nti yadde wabaddewo okuseetuka, ddwaliro lino teririimu byuma bimala kuyamba balwadde.
Akulembeddemu abantu bano omukyala Rebecca Mayengo agambye nti ebyuma ebikalirira bitono kko ne sikaani yamagumba kyokka ng’abalwadde bangi
Kati bano basabye parliament okussa amaanyi ku gavumenti okulaba nti eddwaliro lino litereera
Bino bigyidde mukaseera nga egwanga lyetegekera okukuza olunaku lwa kookolo olwokukuzbwa enkya e Kiryandongo.