Ssabaduumizi wa poliisi gen Kale Kaihura olwaleero akyaddeko ku ttendekero lye Makerere okulaba ebintu nga bwebitambula era nekizuulibwa nti ettendekero lino teririna kamera za CCTV.
Gen Kaihura agamba nti okubulawo kwa kamera zino kussaawo obuzibu obwamaanyi n’awa eky’okulabirako ky’obulumbaganyi obwaali e Kenya ku yunivasite ye Garissa
Kaihura agamba nti kamera zino ziyamba okulondoola abafuluma n’okuyingira ettendekero ekitasoboka mu kadde kano.
Kaihura wabula agambye nti kino bakitegedde nga kati bakunoonya engeri y’okuyambamu abayizi kyokka n’abasaba okubeera abegendereza ennyo.