Ebyobulamu
Ekyuuma ekirongoosa amazzi kizze
Kampala Capital city authority efunye kkampuni egenda okutunda amazzi g’okunywa amalongoose
Atwala eby’amazzi mu KCCA Joel Mwesigye, agamba nti kkampuni emanyiddwa nga Water Purification Systems Ltd y’ewereddwa omulimu guno
Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza amazzi gano, Mwesigye agambye nti kino bakikoze okulwanyisa obulwadde bwa Typhoid obwefunyiridde bannakampala olw’amazzi agasinga okubaamu empita mbi
Yye akulira kkampuni eno Rolf Mueller agamba nti bakozesezza obukadde bwa doola emitwalo 10 okugula ekyuma ky’omulembe ekigenda okulongoosa amazzi olwo bagasuubuze abagatunda mu bucupa
Mullera agamba nti buli kidomola kyakugula shs 150
Wabula abasuubuzi abamu bategeezezza nga zino bweziri waggulu ennyo kubanga abasinga bakola shs 3000 olunaku.
Wabula yye ssentebe w’abasuubuzi Godfrey Kayongo agambye nti keekadde abasuubuzi bakulembeze obulamu bw’abantu kubanga amazzi gebabadde batunda gabadde makyafu ate nga tebagafumba
KCCA yawera amazzi g’emidumu mu kibuga ng’agamba nti amazzi galimu empitambi era kyekireese obulwadde bwa Typhoid ne Kkolera