Poliisi mu disitulikiti ye Masaka ekutte abantu basatu lwakukakana ku mwana nebamukuba emiggo nti bamugobamu mizimu nebamutta.
Pauline Nakayenga omuyizi mu kibiina ekyokusatu ku ssomero lya Hill-Road Public Primary School y’akubiddwa obubi enyo nga era omubiri gwe gwonna gusangiddwako amabwa.
Taata w’omwana ono Paul Tebandeke omusomesa ku ssomero lya King David S.S y’akwatiddwa ne nyina Florence Nalubowa nga ono ye jajja w’omwana ono wamu n’omusawo w’ekinanasi Henry Mbidde mu tawuni ye Lukaya.
Omwana ono azze alumbibwa ebizimuzimu era olw’agenda ew’omusawo wekinanasi ono Mbidde n’awa Jajja ne taata amagezi okuswanyulanga omwana ono buli lwarinyibwako ebizimuzimu bimwamuke.
Ye Jajja w’omwana ono Florence Nalubowa alumiriza nyina w’omwana okusindikira muzzukuluwe ebyokoola lwa kitaawe kugaana kumwanjula.
Aduumira poliisi ye Masaka Moses Kakiryo ategezezza nga abasatu bano bwebagenda okugulwako ogwokutulugunya ssaako n’okutta omuntu.
Ye ssentebe w’abasawo bekinansi e Masaka Kayinga Kiggundu ategezezza nga Mbidde bwali omufere nga era tebamuwandiisangako nga omusawo wekinanasi mu kibiina kyabwe ekibataba.