Abatuuze be Kyamuliibwa mu disitulikiti ye Kalungu ssibasanyufu n’ekyagavumenti okutongoza amazi ga payipu ku kitundu kyabwe wabula nga n’okutuusa kati tebalaba ku ttondo lya tuzzi.
Mu mwezi gwokusatu omwaka guno omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Musevei yatongoza pulojekiti y’amazzi eno mu gombolola ye Kyamulibwa wabula nga byakoma awo amazzi teri.
Abatuuze bemulugunyizza basisinkanyemu omubaka wa palamenti ow’ekitundu kino Joseph Gonzaga Ssewungu.
Ssewungu mu kubaanukula ategezezza nga enkola eno bweyapapirwa kubanga ne layini y’amasanyalaze eyali erina okutambuza ekyuuma ekisindika amazzi tenamalirizibwa.