Ebyobulamu
Owa sukaali azadde bulungi
Omukyala amenye likoda bw’azadde omwana bulungi nga tasaliddwa ate ng’alina obulwadde bwa sukaali
Omukyala ono baali baamussaamu akawago k’ekimpatiira okumuyamba okukuumira sukaali we awatuufu.
Catriona ow’emyaka 41 azaalidde mu ddwaliro lya Norfolk era ng’akubyeewo ddenzi.
Omukyala ono alina ekika kya sukaali asooka ng’ono kibadde tekirabikangako omukyala amulina okuzaala nga tasaliddwa
Akuuma akamussibwaamu kazze kakozesebwa ne ku bakyala abalala kyokka nga bbo bazaalira ku biso