Skip to content Skip to footer

Olutalo ku ndwadde ezitasiigibwa

Cancer institute

Olutalo ku ndwadde ezitasiigibwa mu bitundu by’ebyaalo lwongeddwamau amaanyi.

Ab’ekibiina kya AMREF health Africa beeyamye okwongera amaanyi mu kulaba nti bakuba enkambi mu byaalo okwongera okutuusa obujjanjabi ku bantu n’okubasomesa

Akulira ekibiina kino Benet Leykun agamba nti ekigendererwa kyaabwe kutuuka ku bantu abatalina busobozi kujjanjaba ndwadde zino zitasiigibwa ezikula ku misinde egyayiririri.

Endwadde ezoogerwaako mwemuli kokoolo, omutima, sukaali n’endala

Mu ngeri yeemu ab’ekibiina kino bategeezezza nga bwebagenda okusigala nga bakolagana ne Uganda yadde nga yayisa etteeka ku bisiyaga.

Leave a comment

0.0/5