Skip to content Skip to footer

Abalamuzi balayiziddwa

Bart Katureebe

Ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Katureebe alayizza abalamuzi b’eddaala erisooka 8 ku kkooti enkulu wano mu Kampala.

 

Nga amaze okubalayiza, abalabudde obutaba ba myoyo mitono nga balya enguzi era n’abakubiriza okubeera abenkanya nga basala emisango.

 

Ssabalamuzi era aliko ebyuma mi kalimagezi ebyomungalo 47 by’awadde abalamuzi abakulu okwewala abantu okusomola ensala y’emisango gyabwe nga tebanagiyisa.

 

Katureebe ategegezza abalamuzi baakuyambibwa okunonyereza ku misango gyabali mu mitambo nga tebanagisala.

Abawadde amagezi okuloopa ku poliisi singa kompyuta zino bibabibbwako.

Leave a comment

0.0/5