Ekitongole ekigabi ky’ekisonyiwo kitandise okukunganya ebikwata ku baali abayeekera abebbirira nebadda mu ggwanga nga tebanaweebwa satifikeeti za kisonyiwo.
Kamissiona w’ekitongole kino Msgr Thomas Kisembo ategezezza nga bwebagenda okuwandiisa abo bonna abakomawo mu ggwanga nebetabika mu balala nga tebafunye lukusa.
Kisembp agamba abagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno beebo abazze balwanyisa gavumenti okuva mu 1986 era n’asaba buli muyeekera gyali nga awulira akooye ensiko yeweeyo eri enkambi y’amagye emuli okumpi , poliisi oba ku ofiisi z’omubaka wa pulezidenti mu kitundu gyali.
Agamba ekigendereddwa mu kubawandiisa kwekulaba nga baganyulwa mu buyambi obubaweebwa obwatandise okugabibwa mu disitulikiti ye Kiryandongo.