Abayisiraamu balabuddwa obutagendera ku ssaawa nga balya ddaaku wabula batunulire nkaliriza embeera y’obudde nga bwekirambikiddwa mu kitabo ekitukuvu ekya Quran. Mambya bw’asala kabonero akalaga nti daaku eweddeko nga okusiiba kutandise. Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okufulumya essaawa ezawukana ku ddi omuntu kwalina okulya ddaaku nga abamu bagamba eggwako ssaaka 10 nga bukya sso nga abalala kkumineemu n’ekitundu. Imam w’omuzikiti gwa Old Kampala sheikh Imran Ssali agamba abayisiraamu basaanye okwegendereza mambya sso ssi kwesiba ku ssaawa kubanga Quran ekirambika bulungu ddi omuntu lwarina okulya ddaaku.
