Ebyobulamu
Mwekebeze nga muli mbuto- basawo
Abakyala bakubiriziddwa okweyuna amalwaliro nga bamaze okuzaala okukeberebwa.
Akulira ekitongole ky’abazaalisa mu ddwaliro ekkulu e Mulago Dr. Josephat Byamugisha agamba kino kijja kuyamba okukendeeza ku baana abafa nga bakyali abato nebamaama abakazaala.
Agamba kino kiyamba abakyala okufuna amagezi ku ngeri gyebasobola okwetegekeramu oluzaala oluddako.
Wabula agamba gavumenti esaanye okutunula mu ngeri gyeyinza okusikiriza abakyala okudda mu malwaliro nga bamaze okuzaala bajanjabibwe.
Okusinziira ku DR. Byamugisha bamaama 16% abazalira mu ddwaliro e Mulago bebokka abaddayo okukebeerebwa nga bamaze okuzaala.