Skip to content Skip to footer

Obubbi bw’emmotoka bususse

File Photo: Omusilikale wa Police nga lambula emotoka
File Photo: Omusilikale wa Police nga lambula emotoka

Ab’obuyinza mu bitundu bye Busia beralikirivu ku bubbi bw’emmotoka okweyongera nga era nyingi enzibe zitundibwa mu kitundu kino.

 

Alipoota ya poliisi ekola ku busukka nsalo kumpi n’eggwanga lya Congo y’alaze nga emmotoka ezibibwa mu Uganda bwezitundibwa munda mu Congo nga zzo ezibibwa mu Kenya zitundibwa wano mu Uganda.

 

Omubaka wa pulezidenti e Busia  Hussein Kato Mitanda agamba kati ababbi bagenda beyongera mu bitundu bye Kenya gyebabba emmotoka enyingi olwa Uganda okwongera okunyweeza ebyokwerinda byayo.

 

Agamba mu bbanga lya mwezi gumu gwokka emmotoka 2 zakwatiddwa nga zitwalibwa e Kenya nga zaabadde zibiddwa okuva wano mu Uganda.

Leave a comment

0.0/5