
Bba w’omuyimbi Stecia Mayanja asuubirwa okudda mu kkooti olwaleero bamusomere omusango gwe ogw’obufere.
Abbas Mubiru mu kiseera kino yeyimirirwa asuubirwa okulabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Lillian Bucyana okumanya wa okunonyereza wekutuuse ku musango gwe.
Mubiru avunanibwa kufera Ronald Ddanze obukadde 45 bweyamuguza ettaka ly’empewo.