Ssentebe wa NRM Alhajji Moses Kigongo kyaddaaki ategeraganye n’eyali mukyala we Olive Kigongo okufuna omuntu anabala ensimbi eziri mu by’obuggagga byaabwe nga tebannalowooza ku kugabana
Mu nteseganya ebikubiriziddwa omulamuzi Yorokamu Bamwine, ababiri bano era bategeraganye okufuna obubazi w’ebitabo okuyita mu banka gyebatereka ensimbi okuli Barclays, standard Chartered ne Bank of Baroda era ebinavaayo babyanje nga 8 omwezi gw’okuna omwaka guno
Omulamuzi ono yatuuza ababiri bano oluvanyuma lw’okutandika okusika omuguwa mu lujjudde nga bakayaanira ebyobugagga oluvanyuma lwokwawukana mu bufumbo bwebamazeemu emyaka egisoba mu 20