Ekitongole kya Kampala capital city Authority kirangiridde nga bwekiggadde kabuyonjo zaayo ku City Square.
Kino kikoleddwa okusobozesa omulimu gw’okuziddabiriza okugenda mu maaso.
Amyuka atwala ebyobulamu mu KCCA Dr. Daniel Okello agamba kabuyonjo zino zaazimbibwa emyaka 40 emabega ng’abantu ssi bangi kyokka nga bazze beyongera
Ono agambye nti zzo ezaggalwa edda nazo zakuggulwa akadde konna