Skip to content Skip to footer

Obwakabaka bukungubagidde abafiridde mu muliro e Rakai

Bya Sam Ssebuliba

Minista webyensjigiriza nemizannyo Janet K. Museveni alayidde, nga bwagenda okufefeta ba kalittima bonna abatekedde ekisulo kyabayizi, ku ssomero lya St Bernard Manya SS omuliro.

Minista okowgera bino abadde atuseeko ku ssomero lino mu district ye Raka,i enjega omwakafiira abayizi 11, nga kisubirwa nti abaali abayizi aba S4 abagobwa olwobusiwuufu bwempisa bebababadde emabega wekikolwa kino.

Ategezezza nti abatemu bano bayinza okulowooza nti bajja guma zambiro, naye bakukwatibwa bavunanibwe nga balina okukisasulira.

Wano ajjukizza abazadde buli omu akole omulimu gwe okukuza obulungi abaana, okwewala abantu abemitima emikyamu ngab.

Okusinziira ku poliisi abayizi basooase kubasibira munda mu kisulo oluvanyuma nebakitekera omuliro nga tebalina wakuddukira.

Abantu 8 okuli abayizi, abaali abayizi nabasomesa bakwatiddwa bayambeko mu kunonyererza.

Ate obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abaana abaafiiride mu muliro ogwakutte essomero lino.

Mu bubaka obuwerezeddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, obwakabaka busaasidde  abazadde b’abaana abajiridde mu muliro guno, abaana nabadukanya essomero lino.

Wabula Katikiro asabye abasomesa obutaggwamu maanyi olw’ekikangabwa kino wabula kibongere amaanyi okukolanga obulungi emirimu gaybwe.

Ono era asabye nabebyokwerinda okwongera amaanyi mu kunonyereza ku njega eno.

Leave a comment

0.0/5