Amawulire

Bafunye ekyuuma ky’omutima

Bafunye ekyuuma ky’omutima

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

File Photo: Abasawo ku kyuma ekyemitima

File Photo: Abasawo ku kyuma ekyemitima

Abalwadde abakozesa eddwaliro lya Rugarama mu kibuga kye Kabale bafunye ekyuma ky’emitima

Ekyuma kino ekibalirirwaamu obukadde 150 kiwereddwaawo eggwanga lya Bungereza nga liyita mu kibiina ky’obwa nnakyeewa ekya Alongside Africa.

Akulembeddemu okugaba ekyuma kino Lawrence Titterton y’akwasizza atwala eddwaliro Dr Gilbert Mateka ekyuma kino n’ategeeza nga bwekigenda okuyambako ku balwadde b’emitima

Ab’ekibiina kino era balabirira  abaali ku nguudo abasoba mu 40 nga babawa essuubi okuddayo okusoma