Skip to content Skip to footer

Lukwago ayagala gavt ewe buli maka emitwalo 250000 mu muggalo guno

Bya Damali Mukhaye,

Loodi meeya wa kampala ayagala gavt egabira buli maka emitwalo 25 basobole okuyita mu nnaku 42 ezomuggalo

Kino kidiridde olunaku lweggulo gavt okulangirira nga bwegenda okugaba ensimbi eri abantu abali mu bibuga bamufuna mpola abakosebwa nembeera eyomuggalo.

Oluvanyuma lwolukiiko olwatudde olunaku lweggulo ssabaminisita Robinah Nabbanja agambye basazeewo ku mulundi guno bagabe sente nkalu okwewala ebizibu bye bayitamu mu muggalo ogwasooka.

Kati mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala Lukwago agambye nti buli muntu alina okuweebwa shs 6000 buli lunaku bwokubisaamu ennaku 42, gavt erina okuwa buli muntu emitwalo 252000, abantu basobole okulya ekyemisana ne kyeggulo.

Ono agamba nti abanaku abali mu bibuga balina kwawulibwa ba sentebe be byalo ne bameeya ba magombolola lisiti bagiwe abakulu.

Leave a comment

0.0/5