Skip to content Skip to footer

Abagaala okukyankalanya okukyala kwa paapa tubalaba- poliisi

File Photo: Fred Enanga
File Photo: Fred Enanga

Poliisi etegeezezza nga bw’efunye amawulire nga bwewaliwo ekibinja kya bannabyabufuzi abakolagana ne bannakyeewa okuttattana erinya lyayo nga paapa akyadde kuno.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bagudde mu lukwe olulukibwa wansi wa kawefube atuumiddwa “kkomya obukambwe bwa poliisi” agendereddwamu okutaataganya okukyala kwa papa omwezi ogujja.

Enanga alabudde abateekateeka okukola kino okwewalira ddala okugatta eby’obufuzi ebigendereddwamu okutataganya eby’okwerinda by’eggwanga kubanga poliisi ssiyakubikkiriza.

Agamba bino bikolebwa abatalina myowo gwa ggwanga era n’alabula nebannayuganda okwewala okugwa mu nvubo y’obulimba buno.

Ggyo emirimu gy’okuddabiriza ekiggwa ky’abajulizi e Namugongo gitambula bulungi nga era paapa wanagira mu ggwanga nga buli kimu kiwedde.

Abakulira ekeleziya mu ggwanga bebawadde obweyamu buno mu lukungaana lwabannamawulire amakya galeero.

 

Leave a comment

0.0/5