
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ayongedde okufuna abawagizi abamwegattako.
Waliwo bannakibiina kya Pressure for National union ekikulemberwa eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya abekutudde ku mukulembeze waabwe nebegatta ku Mbabazi.
Ekibinja kino kirimu abakulembeze abasoba mu 30 okuva mu disitulikiti nga Jinja, Busia, Pallisa, Luweero ,Nakaseke n’endala.
Bano era begatiddwako ekibinja ky’abawagizi b’ekibiina kya NRM abali eyo mu 20 okuva e Kasese nga nabo basuddewo NRM bawagire Mbabazi.
Bano baaniriziddwa ssabawandiisi w’ekibiina kya DP Matthias Nsubuga n’akulembera omukago gwa Go-Forward Hope Mwesigye.Matia ategezezza nga bwebali abasanyufu nti abantu abalala bagenda bongera obwesige mu Muntu waabwe gwebasimbyewo era n’awera okwongera okusakira Mbabazi obuwagizi.