
Bannakibiina kya NRM batandise kakuyege nga betegekera okusunsunsulibwa kw’omuntu waabwe eyesimbyewo ku bwapulezidenti omwezi ogujja.
Bannakibiina wano mu Kampala bebakulembeddemu nga era baatandise dda okukuba enkungaana ezisaka obuwagizi.
Akulira NRM mu Kampala Salim Uhuru agambye nti ekisinga obukulu kulaga maanyi ku lunaku luno
Ye amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong asabye bannakibiina okwerabira enjawukanaezibaddewo mu kamyufu batwale ekibiina mu maaso.
Ye omuwanika w’ekibiina Rose Namayanja agamba nti teri kulonzalonza pulezidenti Museveni wakuddamu okuwangula obuyinza mu kalulu ka 2016.