
Akakiiko k’ebyokulonda kamalirizza okukakasa emikono gy’abasembye eyesimbyewo ku bwapulezidenti nga talina kibiina Joseph Mabirizi. .
Abawagizi bano bava mu disitulikiti 75 nga era kati Mabirizi afuuse eyesimbyewo ku bwapulezidenti owokutaano okutuukiriza ebisanyizi by’okwesimbawo.
Wiiki 2 eziyise akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde pulezidenti Museveni,akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr. Kiiza Besigye , Abed Bwanika ne Amaama Mbabazi nga bwebatukkirizza ebyetagisa okwesimbawo ku bwapulezidenti.
Amyuka omwogezi w’akakiiko kano Paul Bukenya agamba ku bantu 11 abazzayo emikono , 5 bokka bebakatukiriza ebisanyizo naye nga bakyekenenya emikono.