
Poliisi yakuno erabuddwa obutamala gakozesa mukka gubalagala nemubiseera nga tegwetagisa.
Ab’ekibiina ekirondola eddembe ly’obuntu mu nsi yonna ekya Human Rights Watch bagamba poliisi esanye okugoberera amateeka nga ekozesa omukka guno okwewala okutyobola eddembe ly’obuntu.
Ssabanonyereza w’ekibiina kino mu Africa Maria Burnett agamba poliisi okugumbulula ab’alodda oluvuganya gavumenti buli kisera n’omukka ogubalagala kityobola eddembe lyabwe kale nga kisaanye okukola.
Agamba tiyagaasi alina kukozesebwa nga abakubye enkungaana bakoze effujjo n’okwagala okutuusa ku balala obulabe.
Ono asabye amawanga agayamba Uganda okuli Amerika, Bungereza n’omukago gw’amawanga ga bulaaya okuvaayo mu lwatu bamuvirire poliisi yakuno kyekola naddala nga ekiseera kya kampeyini kisembera.
Gyebuvuddeko akakiiko k’ebyokulonda kaalabula buli yesimbyewo obutakuba lukungaana lwonna okutuusa nga ekiseera kya kampeyini ekigere kituuse omwezi ogujja nga 9.