File Photo: Fred Enanga
Poliisi etegeezezza nga bw’efunye amawulire nga bwewaliwo ekibinja kya bannabyabufuzi abakolagana ne bannakyeewa okuttattana erinya lyayo nga paapa akyadde kuno.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bagudde mu lukwe olulukibwa wansi wa kawefube atuumiddwa “kkomya obukambwe bwa poliisi” agendereddwamu okutaataganya okukyala kwa papa omwezi ogujja.
Enanga alabudde abateekateeka okukola kino okwewalira ddala…