Ebyobulamu
Obujama bususse
Abalwadde n’abajjanjabi ku ddwaliro lya Sembabule health center IV benyamidde olw’obujama obususse mu ddwaliro
Bano okukandula ku maloboozi babadde baaniriza abakulembeze b’olukiiko oludddukanya disitulikiti ababadde bagenze okulongoosa eddwaliro nga basaaye n’okulonda kasasiro ku ddwaliro lino.
Abalwadde bagamba nti embeera eno esusse nga bayinza n’okujjamu ate endwadde endala.
Bano bagamba nti tebalina mazzi ne kabuyonjo enjama kati nga balina okutindigga engendo okunoonya amazzi.
Atwala abakozi mu disitulikiti ye Ssembabule agambye nti obuzibu bwonna buvudde ku nsimbi entono nga tebasobola kukola ku buli kimu.