Ebyobulamu
Kabuyonjo zajjula
Abatuuze mu Ggombolola ye Bukuya e Mubende balajaanidde abatwala eby’obulamu ku disitulikiti okusitukiramu baddabulule kabuyonjo ze ddwaliro lya Bukuya health centre III zebagamba nti zajula dda ng’abalwadde n’abasawo tebalina webakyamira.
Abatuuze mu ngeri yeemu bategezezza nga n’ebiku bwebyazingako edda eddwaliro ate nga n’ebitanda okujanjabirwa abalwadde temuli ekikosezza ennyo eby’obulamu mu kitundu kino.
Wabula bwetwogedeko ne Ssentebe wa disitulikiti Francis Kibuuka Amooti n’ategeeza nga bw’agenda okulagira omuwandiisi w’ebyobulamu ku lukiiko olufuzi olwa disitulikiti okwekenenya embeera eno okusobola okugisalira amagezi.