Ebyobusuubuzi

Ebyuma by’amata biggya

Ali Mivule

July 11th, 2015

No comments

Gavumenti egenda kutandika okuzimba ebyuuma ebinyongoza amata mu bukiikakkono bw’eggwanga.

Kino kibikkuddwa minisita avunanyizibwa ku nsonga z’obulunzi Bright Rwamirama bw’abadde ayogerako eri ababaka ba palamenti ku ngeri gavumenti gy’engenda okwongera ku bungi bw’amata.

Rwamirama agambye nti bassaawo dda ebyuuma bino mu bugwanjuba wamu ne mu buvanjuba bw’eggwanga nga kati badda mu bukiikakkono.

Ono era agambye nti ekitongole ekirondoola omutindo gw’amata mu  ggwanga ekya Dairy development authority kigenda kuggulawo amatabi mu bitundi by’eggwanga eby’enjawulo okuyamba abalunzi okwongera okufunamu.