Skip to content Skip to footer

Aba NRM batandise okukima foomu

Abakulira ekibiina kya  National Resistance Movement bakuddamu okugaba  foomu eri abo  bonna abaagala okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo mu kibiina.

Ebifo ebiriwo mu kiseera kino kuliko abaagala okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti,loodi meeya, saako n’ebifo ebirala.

Amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong agamba foomu zino zisobola okufunibwa okuva ku kitebe ky’ekibiina wali e Kyaddondo okuva ku ssaawa 3 ezokumakya.

Agamba abo bokka abewandiisa bebaggya okukkirizibwa okugyayo foomu zino.

Leave a comment

0.0/5