Skip to content Skip to footer

Abakozi bassizza wansi ebikola

Abakozi abatakola gwa busomesa mu matendekero aga waggulu aga gavumenti bassizza wansi ebikola.

Abakozi bano abasoba mu 4000 batandise leero obutakola nga bagaala kwongerwa ku musaala

Abakozi abatadde wansi ebikola ba ttendekero lye Kyambogo ne Makerere era ng’ekikolwa kyaabwe kisanyalazza emirimu.

Abamu ku beediimye kuliko , abawandiisi, ba baasa, abeera, n’abalala abatasomesa.

Akulira abakozi bano ku ttendekero lye Makerere Amos Tukamushaba ategeezezza nti bakusigala nga tebakola okutuuka minisitule y’ebyenjigiriza lw’enafuna obuwumbi 31 zikole ku musaala gwaabwe

Leave a comment

0.0/5