Abantu basatu okuva mu maka gamu basirikkidde mu muliro ogukutte akasiisira mwebabadde beebase
Ekikangabwa kino kigudde ku kyaalo Katwaki , e Butebo mu disitulikiti ye Pallisa.
Abafudde kuliko Margret Kayendeke ow’emyaka 35, Doreen Mudondo ow’emyaka 10 ne Jude Oyemeti omwana ow’omwaka ogumu gwokka
Yye ssemaka Opakasi Yokayakidi ow’emyaka ana addusiddwa mu ddwaliro e kkulu e Mbale nga tasule tasiibewo y’ali ku mimwa gy’abantu.
Ayogerera poliisi mu kitundu kye Bukedi Micheal Odongo agambye nti omuntu ow’omutima omubi yeeyakoleezezza akasiisira omwabadde abantu bano era ng’omuyiggo gutandise.
Odongo wabula agambye nti byebakafunawo biraga nti zandiba enkayaana z‘ettaka