Ebyobulamu

Eddwaliro lye Jinja teririna musaayi

Eddwaliro lye Jinja teririna musaayi

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

File Photo: Abalwadde mu dwaliro e Jinja

File Photo: Abalwadde mu dwaliro e Jinja

Eddwaliro lye Jinja, kati wiiki bbiri nga teririna musaayi

Kino kibikkuddwa omubaka we Jjinja mu buvanjuba Paul Mwiru .

Bw’abadde ayogerako eri palamenti, Mwiru agambye nti abalwadde bangi abeetaga omusaayi basindikibwa mu malwaliro ga bwannanyini.

Ayagala wabeewo okunyonyola okuva mu minisitule y’ebyobulamu ku lwaki guno bweguli kubanga abantu bangi abafa olwa kino.

Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa asuubizza nti minisitule y’eyobulamu yakunonyereza ku nsonga eno.