
Pulezidenti Museveni agamba nti bakukola kyonna ekisoboka okumanya ekituufu ekyasse abadde minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga gen Aronda Nyakairima
Bw’abadde akyaliddeko ab’enyumba y’omugenzi, pulezidenti agambye nti gavumenti yatandise dda ku ddimu lino yadde nga tekijja kuzza bulamu bwe.
Agambye nti ekirungi nti Gen Aronda yabadde n’abantu abalala bana abagenda okuyambako okunyonyola ekituufu ekyabaddewo.
Pulezidenti agambye nti kyenyamiza nti Aronda yasimattuka ebizibu bingi omuli ne siriimu nga bali mu nsiko kyokka n’afa amangu ate nga babadde tebamanyi nti mulwadde.
Pulezidenti abadde awerekeddwaako mukyala we Janat Museveni, ne muwala waabwe Natasha Karugire.
The army has confirmed that the body of the Gen Aronda Nyakairima will be flown back on Wednesday at 1pm aboard Emirates.
Yye omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda agamba nti omulambo gwa Gen Aronda gwakutuuka mu ggwanga ku lw’okusatu.
Gwakutwalibwa mu palamenti ku lw’okuna ku ssaawa ssatu, abantu bagukubeko eriiso evvanyuma ate nga ku lw’okutaano, omugenzi wakusabirwa mu kisaawe e Kololo.
Mu kkowe lyerimu, gavumenti esabye abantu okusigala nga bakkakkamu nga bw’enonyereza ku kufa kw’omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Aronda Nyakarima.
Kino kizze wakati mu biyitingana nti Gen Aronda yandiba nga yattiddwa.
Gen Kaihura agamba nti kano kaseera kakukungubaga sso ssi kusonga nnwe mu bantu.
Bbo abantu bakyagenda mu maaso n’okukungubagira Aronda bangi gwebogerako ng’omusirise kyokka ng’abadde mukozi.
Ababaka aboogeddeko naffe bagamba nti Aronda akoleredde nnyo eky’okutereeza embeera n’eneyisa ya bannamaggye.
Ate okuddako mu maka ga Gen Aronda agasangibwa e Buziga, embeera ya kiyongobero ng’abenganda n’emikwano balabiddwaako nga batuuka mu maka gano.
Bbo bannamawulire baagobeddwa ddala mu kitundu kino Aronda eyafudde ng’aweza emyaka 56 yalese abaana babiri ne Namwandu