
Poliisi mu Arua ezudde emmundu eyakozesebwa okutta abakuumi b’ekkuumiro ly’ebisolo lya Achai 2.
Ababiri bano batibwa nga balondoola ababba emmundu okuva mu nkambi y’ekkuumiro lino.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya West Nile Josephine Angucia ategezezza nga bamukwata mundu ababiri era bwebalumba n’amaka ga Jimmy Tabu.
Angucia akakasizza nga ddala emmundu eno era yeyabibwa okuva mu nkambi y’ekkumiro ly’ebisolo.