Olusirika lw’okulonda anakwatira omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti bendera mu kulonda kwa Pulezidenti omwaka ogujja lugenda mu maaso wali ku Royal suites e Bugoloobi.
Olusirika luno lwetabiddwamu abakulira ebibiina by’obufuzi ssaako n’abakulu b’omukago guno.
Abaliyo kuliko ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao, eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya, Dr Kiiza Besigye n’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi.
Amyuka omwogezi w’omukago guno Sheilla Kewamala, agamba olunaku lw’enkya abesimbyewo bakwogerako eri abakungu b’omukago okubaperereza okubalonda.
Wabula Kewamala agamba tebannakiriziganya ku ngeri gyebagenda okulondamu anawanika bendera y’omukago nga abamu baagala basuule kalulu sso nga abalala baagala kutuuka ku nzikiriziganya.
Ategezezza nti olwokutaano welunatukira nga bamaze okumanya anakwatira omukago bendera mu kalulu ka pulezidenti aka 2016.