
Ab’enkambi y’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi baagala akulira abakuumi be eyakwatiddwa poliisi ayimbulwe mangu.
Christopher Aine y’akwatiddwa ku balaza ya sabbiiti eno nga poliisi ezze yegaana okumukwata okutuusa olunaku lw’eggulo bweyakkaiyizza nti ddala bebamulina.
Akulira ebyamawulire bya Mbabazi Josephine Nkangi agamba oba omuntu wabwe alina omusango oba nedda bamuyimbule oba ssikyo atwalibwe mu kkooti .
Wabula amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agamba poliisi ekyanonyereza nga era bakolagana ne ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti okulaba emisango gyebanaggula ku Aine.