Abawagizi b’ekibiina kya NRM e Sembabule balumbye poliisi ye Kiruhura nga bawakanya okuyimbulwa kw’abantu abagambibwa okutataganya enkalala z’abalonzi b’ekibiina.
Bano nga bakulembeddwamu omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo, bategezezza aduumira poliisi ye Kiruhura nga bwebatali basanyufu ku kuyimbulwa kw’abantu bano abasatu abasangula amanya gabamemba ku nkalala.
Ku lwokutaano poliisi ye Lushere mu disitulikiti ye Kiruhura y’akwata abasatu bano n’enkalala 53 nga kigambibwa nti basangulako amanya g’abawagizi ba ssekikubo olwo nebaddamu nebookyamu enkalala zino.
Wabula ye aduumira poliisi ye Kiruhura Moles Byaruhanga, y’alagidde abasatu bano bayimbulwe ekitanudde ssekikubo nebanne.
Wabula ye ssentebe w’akibiina kya NRM e Sembabule George William Katokozi asambze ebigambibwa nti baagala kulemesa ssekikubo nga abawagizi be bwebabitema.