Omu kubesimbyewo ku bwa pulezidenti Prof Venansious Baryamureeba asubirwa okuzzayo empapula z’okusunsulibwa okwesimbawo ku bwa pulezidenti olwaleero eri akakiiko k’ebyokulonda.
.
Baryamureeba asuubirwa ku kakiiko k’ebyokulonda amakya galero nga era enteekateeka yonna ey’okuzzayo ampapula ekomekerezebwa nga September 29th.
Abantu 48 bebagyayo empapula mu ntekateka eyaggulwawo nga 17 August.
Amyuka omwogezi w’akakiiko kano Paul Bukenya agamba teri yesimbyewo kuggya na bawagizi.
Agattako nti oluvanyuma abanaaba bakakasiddwa bakulonda olunaku kwebanasunsulibwa.
Okusunsulibwa kw’abesimbyewo ku bwa pulezidenti kwakukwatibwa nga 5 ne nga 6 October mu kisaawe e Namboole.