
Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu disitulikiti ye Kasese oluvanyuma lw’abayeekera ba ADF okulumba enkambi y’amagye eye Rusese e Mpondwe ku ssande.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri Maj. Ronald Kakurungu ategezezza nga bwewabaddewo okuwanyisiganya amasasi wakati w’abajaasi ba UPDF n’abayeekera abaabadde bagezaako okubba emmundu.
Kakurungu ategezezza nga omu ku balumbaganyi bweyatiddwa nga era abamu ku balumbaganyi b’ategerekese nga Musa Kazibwe omutuuze we Nbaweru ne Ismail Katungi abeera e Bwaise nga era muyizi ku yunivasite ye Makerere.
Kigambibwa nti bano okwesogga enkambi bano baefudde abadduse mu bayeekera naye oluvanyuma nebabagwamu.