
Abasuubuzi ba zaabbu n’abamusima mu district ye Mubende balajanidde pulezidenti Museveni okubayamba mu kunyweza eby’okwerinda byaabwe mu birombe bya Zaabu ono ebiri mu kitundu kino olw’omuwendo gw’abantu abafa okweyongera obungi nga batemulwa ne babibwako ensimbi ng’ettaka libaziika olw’obutafuna byuma bigunduuza kubasimulayo n’obutaba na poliisi emala mu kitundu kino.
Abantu abali mu mitwaalo omusanvu bebaddukira mu bitundu okuli Kitumbi ne Bukuya okusima zaabbu wabula n’abantu abaffa omuwendo gweyongedde nga buli lunnaku waffa omuntu ng’abutikiddwa ettaka kyokka gavumenti tevuddeyo kusomesa bantu bali mu kitundu kino n’okubawa obukuumi obumala mu kunyweza ebyokwerinda byabwe wamu n’okubafunira obutale.
Abasubuuzi bano nga bakulembedwamu ssentebe waabwe Lukwago Ismail basinzidde mu lukiiko olutudde mu kirombe kya Lujinji mu gomboloora ye Kitumbi olugenderedwamu okugonjola obuzibu bwebayitamu mwebasinzidde okulajanira omukulembeze we ggwanga nga kino kiddiridde bannaabwe bangi okujja nga bategebwa ababbi ne babanyagako ensimbi.
Abantu bano bagamba nti bayiganyizibwa n’abazungu abagala okubalemesa okukola omulimu guno kubanga gavumenti ebateeramu omukono.