
Okuvaako e Mukono omukuumi yefuulidde omwana w’awaka n’amukuba amasasi lwakugaana kumuganza.
Alex Kadidi omukuumi mu kkampuni ya Security Plus Ltd yalumbye Caroline Natukunda ow’emyaka 23 mu nyumba n’amusaba omuwase era olwagaanye n’amulasa amasasi
Amasasi omusirikale ono omwana yagamukubye ku kabina kyokka nga naye mu kugezaako okudduka, tuleera yamukoonye nga kati ajjanjabwa mu ddwaliro e Mulago.
Twogeddeko n’omwana alumbiddwa kko n’abenganda ze nebategeeza nti balirwaana abatabukidde omusirikale ono beebabategeezezza ebibaddewo