Amawulire
Poliiyo- Uganda eri mu lusuubo
Uganda eri mu bulabe bw’okuddamu okulumbibwa ekirwadde kya polio
Ab’ekibiina ky’ensi tonna bagamba nti abantu abasoba mu bukadde 2 beebali mu bulabe bw’okufuna ekirwadde kino mu Uganda
Mu kadde kano abaana abalina poliiyo mu Somalia bali 100 mu Kenya baliyo 10 era nga ne Uganda teyeyinula
Omukungu mu kibiina kino Dr Samuel Okirio agamba nti abantu bayitiridde kutambula nga bava mu mawnaga gano okuyingira Uganda nga kino kiyinza okuvaako embetezi
Obulwadde bwa Poliyo bwaali bwakoma okutawaanya Uganda mu mwaka gwa 2011