Abesimbyewo ku bwa loodi meeya 2 bokka bebakakakasa okuzzayo empapula z’okusunsulibwa ku bwa loodi meeya.
Loodi meeya Erias Lukwago wakusunsulibwa olunaku lwenkya ku ssaawa munaana ezemisana sso nga ne Isa Kikungwe naye walunaku lwankya.
Akulira ebyokulonda mu disitulikiti ye Kampala Charles Ntege agamba abantu 6 bebagyayo empapula ku kifo kino okuli Eugene Nkulanaba, Mohammed Kyanzi, Rwamiti Apuuli ne Daniel Kazibwe amanyiddwa enyo nga Ragadee.
Ntege asabye bonna abesimbyewo okusaba olunaku lwokusunsulibwa mu budde okwewala obukubagano n’okubanguyiza emirimu gyabwe.