Abaagala okusunsula abesimbyewo ku bwa loodi meeya kuyimirizibwe bawaddeyo okwemulugunya kwabwe eri kkooti etaputa ssemateeka.
Mulindwa Muwonge nga ayita mu bannamateeka ba KM Advocates and Associates ategezezza nga etteeka lya KCCA bweligyawo ebyagavumenti ez’ebitundu kale nga okubeera n’ekiwayi kyabannabyabufuzi mu KCCA kimenya mateeka.
Muwonge agamba bino byonna bimenya mateeka mu kawayiro namba 2 mu ssemateeka w’eggwanga akawa gavumenti obuyinza ku kibuga ekikulu eky’eggwanga yadde nga akawayiro namba 6 kko kakkiriza bakansala okulondebwa nebegatta ku kitongole kya KCCA okuddukanya ekibuga.
Ayagala ssabawolereza wa gavumenti n’akakiiko k’ebyokulonda baleme kugenda mu maaso na kusunsula kuno.
Okusaba kuno mukiseera kino kuli wamuwandiisi wa kkooti Deo Nzeyimana .