Skip to content Skip to footer

Aba Mbabazi batabuse

Bannamateeka b’eyali ssabaminsiata w’eggwanga era eyesimbyewo ku tikiti y’omukago gwa Go-Forward  Amama Mbabazi batiisizza okugenda mu kkooti nga balumiriza abamu ku bavuganya omuntu waabwe  okutataganya enkungaana ze.

Bano bemulugunya ku batimbulayo ebipande by’omuntu waabwe era bakiikidde Lt.Gen Henry Tumukunde ensingo olwokutwala akanyonyi kanamunkanga mu lukungaana lwa Mbaabzi lweyakubye e Fort potal.

 

Kati nga bakulembeddwamu  Fred Muwema bannamateeka bano bagamba bino byonna bimenya mateeka wabula akakiiko k’ebyokulonda katunula butunuzi yadde nga bakawandikidde enfunda eziwera ku nsonga eno.

 

Muwema alabudde nti bakuddamu okutegeeza ab’akakiiko kano omulundi ogusembayo nga singa abakola kino tebagambibwako bakugenda mu kkooti.

Mungeri yeemu  Mbabazi wakukuba olukungaana lwabannamawulire nga tanagenda Kasese gy’agenda okukuba olukungaana.

Leave a comment

0.0/5