Skip to content Skip to footer

Paapa y’ali ku mimwa

Abakirisitu mu Uganda bakyagenda mu maaso n’okwesunga paapa nga n’ababaka mu palamenti mw’obatwalidde

Omubaka we Isingiro mu bukiikaddyo Alex Byarugaba agamba nti okukyaaza paapa Kintu kya maanyi nnyo kubanga ajja n’emikisa.

Ono agamba nti ebimu by’ayagala paapa ayogereko gy’emirembe n’okukuuma obutonde.

Paapa wakutuuka mu ggwanga olunaku lw’enkya ku bugenyi obugenda okumala ennaku ssatu.

Nga bano besunga paapa, bbo aba taxi bakaaba nti bakoseddwa nnyo enteekateeka z’ebidduka

 

Yyo minisitule y’ebyobulamu etongozezza ambulensi ezinaayamba abanaaba bakoseddwa mu kiseera paapa w’anabeerera mu ggwanga.

Ambulensi zino eziwerera ddala 38 zakutandika okukola olunaku lw’enkya.

Minisita w’ebyobulamu Dr.Elioda Tumwesigye agambye nti zino zakukola ku buli Muntu yenna.

Leave a comment

0.0/5