Waliwo omusajja eyettidde ku ddwaliro ekkulu e Mulago
Ono abuuse okuva ku mwaliiro gw’okuna n’agwa wansi era tazzeemu.
Omusajja ono atannaba kutegerekeka mannya kigambibwa okuba nti yatwalibwa kabangali ya poliisi ku ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’okutaasibwaku bantu abamugwaako ekiyiifuyiiifu nebamukuba .
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira ategeezezza nti kituufu omusajja ono yesse kyokka nga tagasseeko birala.
Omulambo gwe gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago nga bwebalindiridde ab’enganda ze okumukima.