
Abesimbyewo ku bukiise bwa palamenti mu bitundu bye Wakiso balabuddwa obutageza kugabula mwenge buli webakuba enkungaana.
Okulabula kuno kukoleddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Wakiso Hajat Sarah Bukirwa.
Bukirwa ategeezezza nti bagezezzaako okulaba nga bamalawo eby’okugulirira abalonzi kale nga n’okugulira abantu omwenge nakyo bakitunuulidde ku luno.
Ono era aweze okusazaamu abo bonna abametta banaabwe enziro nga bayita ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo.